Okutumbula amasannyalaze agava mu butonde obutwetoolodde mu maka gaffe kya mugaso nnyo okulwanyisa ebbula ly’amasannyalaze era kiyamba nnyo mu kunyweza enkulaakulana eya nnamaddaala n’okukuuma obutonde obw’ensibo. Nga tuyita mu nteekateeka eyitibwa mu lufuutifuuti “STEP CHANGE”, tujja kukolagana ne bannayuganda mu byalo, okutumbula amagezi ag’ekikugu munkozesa ya amasannyalaze gano.

Enkola eno, ejja kusimba nnyo essira mu bantu abakolera awamu mu bibiina eby’obwegasi mubyobulimi, naddala mu bitundu bya Kyankwanzi, Kiboga ne Luweero omuli abantu abataandika edda enkola eno.

Tujja kwekeneenya engeri abeegassi mu bibiina bino gye basoboddemu okwekulaakulanya, okulwanyisa obulyake, n’okukwata ku bantu abalala, naddala mu kutumbula obutonde bw’ensi awamu n’okwekulaakulanya mu bitundi byabwe.

Kuno kwe tunaasinziira okutema empenda ezinabasobozesa okutumbula obukugu munkozesa ya amasannyalaze agava mu butonde obubeetolode, kibayambe okulwanyisa ebbula ly’amasannyalaze n’okutumbula enkulaakulana ey’ekimemmette mu by’obulimi. Eby’okuyiga bye tunaggya mu nteekateeka eyo, bijja kutuyamba nnyo okugaziya enteekateeka eno mu bitundu ebirala nga tuluubirira okugituusa mu Uganda yonna.

Abantu abaneetaba mu nteekateeka eno

Mwattu, wandyagadde okutwegattako mu nteekateeka eno? Tukwanirizza nnyo. Tukusaba ojjuze akakonge kano wammanga okatuddize, tusobole okukuweereza omu ku bakozi baffe anakunyoyola ebisingawo.


    Supporting Institutions

    • Kyankwanzi District Local Government
    • Caritas Kikyusa Multipurpose Cooperative Society
    • Caritas Kasanaensis
    • Kasaala Twezimbe Multipurpose Cooperative Society
    • Kyalugondo Multipurpose Cooperative Society